Proverbs 31

Okulabula ku Kunywa Ekitamiiza

1 aEbigambo bya kabaka Lemweri bye yayogera, nnyina bye yamuyigiriza.

2 bGgwe mutabani wange, ggwe mutabani w’enda yange,
ggwe mutabani w’obweyamo bwange.
3 cTomaliranga maanyi go ku bakazi,
Abakazi aboogerwako wano be baweereza abakazi abangi ababeera mu lubiri; batabulatabula kabaka ng’akola emirimu gye

newaakubadde amaanyi go ku abo abazikiriza bakabaka.

4 eGgwe Lemweri, si kya bakabaka,
si kya bakabaka okunywanga omwenge,
so si kya balangira okwegombanga omwenge,
5 fsi kulwa nga bagunywa ne beerabira amateeka,
ne batalamula mu bwenkanya abantu baabwe abatulugunyizibwa.
6 gEkitamiiza mukiwenga oyo ayagala okufa,
n’omwenge oyo alina emmeeme eriko obuyinike.
7 hMumuleke anywenga yeerabire obwavu bwe,
alemenga kujjukira nate buyinike bwe.

8 iYogereranga abo abatasobola kweyogerera,
otunulenga mu nsonga z’abo bonna abaasigala ettayo.
9 jYogera olamulenga n’obwenkanya,
olwanirirenga abaavu n’abali mu bwetaavu.

Omukazi ow’Amagezi

10 kOmukazi omwegendereza ani ayinza okumulaba?
Wa muwendo nnyo okusinga amayinja ag’omuwendo ennyo.
11 lBba amwesiga n’omutima gwe gwonna,
era bba talina kyonna kya muwendo ky’abulwa.
12Aleetera bba essanyu so tamukola kabi,
obulamu bwe bwonna.
13 mAnoonya ebyoya by’endiga n’anoonya ne ppamba,
n’akola emirimu gye mu ssanyu eritayogerekeka.
14Ali ng’ebyombo by’abasuubuzi,
aleeta emmere okuva mu nsi ezeewala.
15Agolokoka tebunnakya,
n’awa ab’omu nnyumba ye ebyokulya,
n’agabira abaweereza be abawala be abaweereza emirimu egy’okukola.
16Alowooza ku nnimiro n’agigula;
asimba ennimiro ey’emizabbibu n’ebibala by’emikono gye.
17Omukazi oyo akola n’amaanyi omulimu gwe,
emikono gye gikwata n’amaanyi emirimu gye.
18Ayiiya ebyamaguzi ebirimu amagoba n’abisuubula,
era n’ettabaaza ye ekiro tezikira.
19Anyweza omuti oguluka ppamba mu mukono gwe,
engalo ze ne zikwata akati akalanga.
20 nAyanjululiza abaavu omukono gwe,
n’agololera omukono gwe oyo ali mu bwetaavu.
21Mu biseera by’obutiti taba na kutya,
kubanga ab’omu nnyumba ye bonna baba n’engoye ez’okwambala.
22Yeekolera ebibikka obuliri bwe,
era engoye ze za linena omulungi, za ffulungu.
Engoye za ffulungu zaali za bbeeyi era nga kabonero ka kikungu

23 pBba amanyibbwa,
y’omu ku bakulu abakulembera ensi, era ateeseza mu nkiiko enkulu.
24Omukazi atunga ebyambalo ebya linena n’abitunda,
n’aguza abasuubuzi enkoba.
25Amaanyi n’ekitiibwa bye byambalo bye,
era tatya ebiro ebigenda okujja.
26 qAyogera n’amagezi,
era ayigiriza ebyekisa.
27Alabirira nnyo empisa z’ab’omu nnyumba ye,
era talya mmere ya bugayaavu.
28Abaana be bagolokoka ne bamuyita wa mukisa,
ne bba n’amutendereza ng’ayogera nti,
29“Abakazi bangi abakola eby’ekitiibwa
naye bonna ggwe obasinga.”
30Obubalagavu bulimba n’endabika ennungi teriiko kyegasa,
naye omukazi atya Mukama anaatenderezebwanga.
31 rMumusasule empeera gy’akoleredde,
n’emirimu gye gimuweesenga ettendo ku miryango gy’ekibuga.
Copyright information for LugEEEE